Wambuzi, Wambwa ne Wante
Fabian Wakholi
Marleen Visser

Wambuzi, Wambwa ne Wante baali ba mukwano nnyo.

Olumu baagenda ku lugendo mu takisi.

1

Bwe baatuuka gye balaga, omugoba w'emmotoka naabasaba basasule ssente.

Wante yasasula ezize.

2

Wambwa yasasula ezisinga ku ze yali alina okusasula, kubanga teyalina muwendo gwa ssente gwennyini.

3

Omugoba w'emmotoka yali anaatera okuddiza Wambwa ssente ze.

Naye Wambuzi n'atandika okudduka ate nga tasasudde.

4

Omugoba yanyiiga nnyo.

Era n'agenda nga taddizza Wambwa ssente ze.

5

Ky'ova olaba n'okutuusa leero, Wambwa adduka okulingiza mu mmotoka.

Alabe omugoba omuvuzi w'emmotoka alina ssente ze.

6

Ate ye Wambuzi bw'awulira emmotoka ejja.

Adduka kubanga atya nti bayinza okumukwata olw'obutasasula.

7

Wante ye tafaayo oba emmotoka ne bw'eba ejja.

Asala ekkubo nga yeetwala anti akimanyi nti yasasula n'amalayo.

8
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wambuzi, Wambwa ne Wante
Author - Fabian Wakholi
Translation - Martha Nansamba
Illustration - Marleen Visser
Language - Luganda
Level - First paragraphs