Wuliliza Omubiri Gwange
Noni
Angie & Upesh

Leero sigenda kusomero Lunaku lw'a kuwumula.

1

Leero sigenda kulaba TV. Tekuli masanyalaze.

2

Ngenda kukola ki? Leelo ngenda kuwuliriza omubiri gwange.

3

Okusookera ddala nina okusirika ennyo. Olwo ndyooke mpulirize omubiri gwange.

4

Yee; kakati nsobola okuwulira bwe nzisa Mundawabwelu Munda. Wabwelu.

5

Era nsobola okusa ennyo Ssssssssssssss! Era nsobola n'okusa empola Mmmmmm.

6

Kakati nsobola okuwulira omutima gwange bwe gukuba. Doodom, doodoom, dooodooom.

7

Nsobola okukubisa omutima gwange enyo? Yee, bwe mbuuka buka emirundi amakumi abiiri.

8

Kati laba omutima gwange gukuba nnyo. Doodom, doodoom, dooodooom!

9

Era bwe nkwata ku mukono gwange mpulira entununsi.

10

Era nsobola okwewulira nga nsekka Haha haha haaah haaa!

11

Era n'okukaaba Boohoooohooo!

12

N'okukuba mungalo Tapu tappa tapu tappa.

13

N'okusingira ddala, kati nsobola okuwulira okududuma mulubuto lwange Guddu guddu guddu.

14

Nga lugamba nti; Ndiisa ndiisa.

15

Era n'enyindo yange ewunyiriza akawoowo akava mufumbiro Maama gy'asikira.

16

Kisanyusa okuwuliriza omubili gwange. Kakati njagala kuwulira emba zange nga bwezigaaya.

17

Olubuto lwange lw'esunga obuggati obw'okya Maama bwakoze.

18
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wuliliza Omubiri Gwange
Author - Noni
Translation - Robert Ssebukyu
Illustration - Angie & Upesh
Language - Luganda
Level - First words