Nakintu n'Ekikulekule
Alan Kenyon
Wiehan de Jager

Awo olwatuuka, ne wabaawo omusajja omwavu ne mukazi we. Baalina omwana omuwala omu yekka ng'erinnya lye ye Nakintu.

Nakintu yali mulungi nnyo ate nga wa kisa era ne bazadde be nga bamwagala nnyo.

1

Lwali lumu bazadde be ne basalawo agende abeere ne kojja we Kiwanuka. Kojja we yali mugagga.

Maama wa Nakintu yamutungira sikaati ennungi eriko amapeesa n'embira. Yamukolera n'omukuufu ogw'embira. Ebyo bye byaggwa n'amusindinka agende ku kyalo kojja we gy'abeera.

2

Nakintu aba agenda n'asanga omugga. Yagusala ng'akozesa ng'agenda alinnya ku mayinja.

Emitala w'omugga yasangayo omuwala omuto ng'ali mu buziina.

3

Omuwala omuto n'ambuuza nti, "Ogenda wa?" Nakintu n'amugamba nti, "Ŋηenda kukyalira kojja wange Kiwanuka."

Omuwala omuto n'amuddamu nti, "Kiwanuka nange kojja wange, era nange gye ndaga okumukyalira."

Bwe batyo ne bagenda bonna.

4

Nga tebannatuuka wala nnyo omuwala omuto n'amugamba nti, "Sikati yo nnungi era n'embira zo zisanyusa nnyo. Nkusaba nange ompe nnyambalemukko."

Nakintu teyali mubi ng'aggyamu sikaati ye n'embira ze ng'abiwa omuwala omuto.

5

Omuwala omuto bwe yeeyambula obuziina bwe n'ayambala engoye za Nakintu, Nakintu n'alaba ng'omuwala alina omukira!

Nakintu yatya nnyo era n'akitegeera nti ddala omuwala ono omuto yali kikulekule.

6

Baatambula mpola mpola bombi. Nakintu yatuuka n'amugamba omuwala omuto nti, "Nkusaba ompe sikaati n'embira zange."

Naye ekikulekule ne kimugamba nti, "Nzikiriza nnyambalemu okutuusa ku muti guli."

Ebyo yabyogera asonga ku muti ogwali ku kasozi mu maaso.

7

Bwebaatuka ku muti, Nakintu n'agamba omuwala nti, "Nkusaba onzirize sikaati n'embira zange."

Ekikulekule ne kimugamba nti, "Kale nzikiriza nnyambalemu okutuuka ku mugga oguddako."

Nakintu bamib yali atidde era n'akkiriza.

8

Tebaalwa ne batuuka ku mugga. Nakintu era n'asaba ekikilekule nti, "Nkusaba onzirize sikaati n'embira zange."

Ekikulekule ne kiddamu nti, "Nzikiriza nnyambalemu okutuuka ku kasisiira kali abakazi we batudde."

Bwe batyo ne beeyongera okutambula.

9

Bwe batuuka ku kasiisira ekikulekule ne kisalawo okusindika Nakintu emabega ne kigamba abakazi abaali batudde okumpi n'akasiisira nti, "Mulabe omuwala ono ayambadde obuziina, obwedd bwonna angoberera. Singa nno atuviira."

Nakintu yatya nnyo era n'aswala n'adduka n'okudduka yeekweke mu kiraalo.

10

Awo ekikulekule ne kigenda mu maka ga Kiwanuka ne kigamba nti, "Nze Nakintu muwala wo. Bazadde bange bansindise nzije mbeere naawe."

Kiwanuka yayaniriza omuwala omuto era ye n'ab'omu maka ge bonna ne baba ba kisa eri omuwala oyo. Bambi ka Nakintu ku olwo kaasula mu kiraalo era n'emmere kaalya na mbwa ku olwo.

11

Emisana Nakintu yagenda mu nnimiro ya kasooli ne yeekweka nga bw'ayimba nti:

Eh nga ndabye ennaku, nga nga ndabye ennaku. Bazadde bange bansindika okubeera ne kojja wange Kiwanuka. Mba ηηenda ne nsanga ekikulekule ne kitwala sikaati yange n'embira zange.
Eeh ngabye ennaku, nga ndabye ennku.

12

Lwali lumu omu ku baganda ba Kiwanuka yali atambula mu nnimiro n'awulira oluyimba olulungi olutali lwa bulijjo. Teyamanya luyimba gye lwali, naye bwe yaddayo ewaka n'abuulira Kiwanuka ebigambo bye yali awulidde.

Amangu ago Kiwanuka n'agenda mu nnimiro. Teyalwa oluyimba n'aluwulira era n'amagamaga okutuusa bwe yazuula Nakintu.

13

Nakintu n'amubuulilra ebyaliwo byonna, engeri ekikulekule gye kyamuggyako engoye ennungi n'atuuka okwambala obuziina.

Kiwanuka yamutwala ewaka n'amukweka mu kasiisira. Kiwanuka yali amanyi bulungi kye yali agenda okukola alyoke akwate ekikulekule.

14

Kiwanuka yali akitegeddeko nti omukira gw'ekikulekule gwagala nnyo amata nti era tegusobola kugayitako nga tegunyweddeko.

Kye yava nno agamba basajja be basime ekinnya ekiwanvu ennyo bakijjuzeemu amata agakaawa. Awo ate n'ayita abawala b'oku kyalo bonna okujja okwetaba mu kuvuganya okw'okubuuka.

15

Omuwala eyali ayambade sikaati n'embira za Nakintu mweraliikirivu nnyo. Yali tyayagala kubuuka kninya. Yali akimanyi bulungi omukira gwe gwali gwagala nnyo amata agakaawa nti era tegwandigayiseeko nga gugalabye.

Kale nno yeekweka mu kasiisira n'asibira omukira gwe ku mubiri gwe era n'agenda ne yeegatta ku bawala abalala.

16

Abawala baatandika okubuuka era omu ku omu nga bonna babuuka bulungi. Ekiseera tekyalwa omulundi gw'ekikulekule ne gutuuka. Ekikulekule kyagezaako okubuukira waggulu ennyo naye omukira gwakyo ne gusumulukuka ne gumusika nga gumutwala mu kinnya omwali amata.

17

Ekikulekule kiba kifuba okuva mu kinnya, abasajja ne bajja mangu ne bakiziikirayo nga bakozesa. Bwe bityo eby'ekikulekule ne biba nga bikomye.

Wabula ye Nakintu yabeera ne kojja we nga musanyufu okumalira ddala ebbanga ddene ddala. Nange awo we nnalabira!

18
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Nakintu n'Ekikulekule
Author - Alan Kenyon, Viv Kenyon
Translation - Rebecca Kuteesa
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs