Olunaku lwe Nasooka okugenda mu katale
Timothy Kabare
Catherine Groenewald

Mbeera ku kyalo ky'Ekiboga. Ekyalo ekyo kikalu olw'omusana ogwaka ennyo, emiti gyakwo gya maggwa era embuzi eziriko zisinga abantu obungi.

N'akatale akali ku kaylo kino kasirifu, kuliko obuduuka butono. Abantu basinga kukozesa bugaali nga batambula.

1

Olumu ku makya Maama yampita n'aηηamba nti, "Kipaku, olwaleero owezezza emyaka mukaaga. Tulina ekirabo kye tugenda okukuwa." Kye nava mbuuza n'amaddu mangi nti, "Kirabo ki? Kirabo ki?"

Ko maama nti, "Enkya bwe tunaaba tugenda mu katale e Kampala, tujja kugenda naawe era tujja kulinnya bbaasi."

Olw'essanyu eringi lye nalina ku mulundi gwange ogusooka okugendako mu kibuga, nalemwa okwebaka ekiro ekyo.

2

Enkeera bwe twali tulinda bbaasi, nayimirira mu makkati ga maama ne ssenga, nga nyambade empale yange eya jin empya n'essaati emmyufu.

Nawulira muli nga kalenzi akatono ennyo awo mu makkati ga maama omutono ate nga muwanvu nga n'eruda waliyo senga omunene obulungi.

3

Bbaasi yali ejjude nnyo, era maama n'andera.

Olw'amasanyu amangi ate n'ebbugumu eryali mu bbaasi, otulo twankwata ne nneebaka era sirina kye nalaba mu kkubo.

4

We twatuukira mu katale e Kampala, enjuba yali yaakavaayo. Ku mulyango gw'akatale waaliwo omukazi eyali atuunda abijanjaalo, obumpwankimpwaki. Ate ku mu sonda eri waaliyo abasajja babiri abaali balenga lumonde.

Ku ludda olulala nga waliyo omukazi omumpi atudde ku katebe ng'akutte helikopita ey'okuzannyisa nga ya bbulu era ng'emasamasa. Kye nava ηηamba maama nti, "Maama, maama, laba helikopita." Wabula maama ye yansika busisi ne tugenda.

5

Mu makkati g'akatale waaliwo omudaala omunene ogwaliko ebibala eby'enjawulo. Ebimu ku bibala ebyo nnali sibirabangako. Kye nnava mbuuza maama nti, "Ebibala bino babiyita batya?"

Kye yava anziramu nga bw'aleekaana nti, "Gino micungwa ate ago mapeera." Nange ne nkyuka ne mmubuuza nti, "Ate bino?"

6

Mu bibala byonna ebyali ku mudaala nasinga kwagalako apo. Nasanyukira nnyo enkula yaazo ne langi. Nabeera awo nga neebuuza engeri gye ziwooma.

Kye nnava ηηamba maama nti, "Nsaba kungulira apo emu."

7

Amangu ddala nga maama ampadde apo, namuta omukono ne nkwata apo n'emikono ebiri ne ngiruma.

Nnali sirya ku kibala ne kimpoomera nga apo eyo. Mu kiseera ekyo ekintu kyokka kye nali nfaako yali apo yange.

8

Bwe namaliriza okulya apo yange, ne nkyuka njogereko ne maama. Ŋηenda okulaba nga taliiwo! Ne ntunula mu kkubo lye twajjiddemu nga maama ne ssenga tebaliiyo.

Ne tunula ku kkono ne ku ddyo naye nga wonna tebalabikako. Ne mbuuza ku bakyala abandi okumpi awo nga batunda lumonde nti, "Mulabyeko ku maama?"

Abakyala tebanfaako era ne ntandika okukaaba.

9

Akaseera bwe kaayitawo, omukazi n'ankwata ku mukono era n'antwala mu kifro ewaali abaana abalala.

Omusajja omunene era eyalina ekirevu ekinene n'ambuuza nti, "Ggwe omulenzi, erinnya lyo ggwe ani?"

Ne mmuddamu nga n'amaziga bwe gampitamu nti, "Ki-pa-ku."

10

Nabeera awo nga neebuuza oba nga akatale kano kaali katunda n'abaana. Ne ndekera awo okukaaba, ne ntunula tunula ndabe oba wanaabaawo omuntu yenna anajja okugula abaana abaali mu kisenge omwo.

Mu kaseera katono, omukazi n'ajja n'atwala omu ku baana. Kye nnava nno ndowooza nti, "Nze gwe bagenda okuddako okutwala. Era kirabika siriddayo waffe."

Ebyo bwe nabirowooza ate ne nziramu okukaaba.

11

Bwe nawulira omusajja omunene era ow'ekirevu ekinene ng'abuuza nti, "Kipaku ali wa?"

Ne nkaabira ddala nnyo ate. Kye nnava ηηamba omusajja nti, "Nze saagala kugenda naawe."

Era bwe ntyo ne mmudukako.

12

Maama ne ssenga bwe baawulira erinnya lyange nga ne badduka nga bajja mu kisenge mwe twali.

Ne mpulira eddoboozi eryefaanaanyiriza lye nnali mmanyi nga liyita nti, "Kipaku, Kipaku?"

Nagenda okulaba nga ye maama yennyini.

13

Mba nnyimuka bwe nti ngwe mu kifuba kya maama, ssenga n'anŋamba nti, "Kipaku obweda tukunoonya tukuwe ekirabo kyo eky'amazaalibwa."

Era bw'atyo yakwata mu nsawo ye ennene n'aggyayo helikopita eya bbulu era emasamasa. N'agamba nti, "Yiyo."

14
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Olunaku lwe Nasooka okugenda mu katale
Author - Timothy Kabare, Ursula Nafula
Translation - Mwesigwa Joshua Waswa
Illustration - Catherine Groenewald
Language - Luganda
Level - Read aloud