Abaana Abaava Mu Nvumbo
Southern African Folktale
Wiehan de Jager

Awo olwatuuka ne wabaawo amaka agaali amasanyufu ennyo.

1

Tebaalwanagananga era baayambanga nnyo bazadde baabwe ewaka ne mu nnimiro.

2

Naye tebaabaganyanga kuliraana muliro.

3

Baakolanga emirimu gyabwe mu budde obw'ekiro.

4

Kubanga baali baakolebwa mu nvumbo.

5

Omu ku balenzi yayagalanga nnyo okugendako mu musana.

6

Olunaku lumu, omwana omulenzi oyo yawulira ng'ayagala nnyo okugenda mu musana.

Baganda be ne bamulabula.

7

Naye omulenzi ono yali yagenze dda mu musana.

Omulenzi oyo era yasaanuukira mu musana ogwali gwaka ennyo.

8

Baganda be ne banakuwala nnyo olwa muganda waabwe okusaanuuka.

9

Naye ne bayiiya okubaako kye bakola.

Olwo ne bakola ekinyonyi okuva nvumbo eyasaanuuka okuva mu muganda waabwe.

10

Ekinyonyi ekyo kye bo kye baalaba nga muganda waabwe ne bakitwala ku lusozi oluwanvu ne bakiteeka eyo.

11

Awo omusana bwe gwayaka ne kibuuka, nga bwe kiyimba mu kitangaala ky'oku makya.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Abaana Abaava Mu Nvumbo
Author - Southern African Folktale
Translation - Mwesigwa Joshua Waswa
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - First sentences