Nanziri n'Endeku
Ursula Nafula
Catherine Groenewald

Nanziri yabeeranga ne bakadde be nga musanyufu okutuusa lwe baafa ng'awezezza emyaka kkumi.

1

Nanziri yagenda n'abeera ne Jjajja. Bambi jjajja we ono yali wa kisa nnyo eri Nanziri.

Ekibi nti yali mukadde nnyo, nga munafu ate nga mwavu.

2

Olumu Nanziri yagendanga ku ntaana z'abakadde be n'ababuulira ku nnaku gye yali alimu.

3

Olumu Nanziri bwe yagenda ku ntaana za bakadde be, yasangayo ekirabo.

Ekirabo ekyo yali Ndeku nga ya njawulo ku ndala era yava mu ntaana za bakadde be.

4

Endeku yayimbanga akayima akalungi ennyo ddala. Nanziri bwe yawuliranga akayimba ako ng'awulirira ddala eddoboozi nga liringa erya nnyina eyafa.

Akayimba kaali kagamba bwe kati:

5

Nanziri oh Nanziri!
Omwana waffe omwagalwa!
Toli wekka, omwagalwa!
Endeku eno, gitwale, omwagalwa!
Beeranga nayo buli w'olaga, omwagalwa!
Ekukubagizenga, omwagalwa!

6

Nanziri endeku ye yagitwalanga buli wamu.

Bwe yabeeranga n'endeku eyo ng'awulirira ddala nga nti mpozzi bakadde be ali nabo awo era nga bamukuuma.

7

Lwali lumu endeku ye ey'enjawulo n'efuna obuzibu. Yayatika bwe yali asena amazzi mu mugga.

Nanziri yawulira nga n'omutima gwe gumenyeseemu.

8

Nanziri yalonda obubajjo bw'endeku ye n'abukwata mu ngato era n'atandika okuyimba:

9

Taata ne Maama, mulabe endeku yange ayatise!
Endeku mmwe gyee mwampa!
Kati nkole ntya, taata ne maama?
Munkolere eky'ekisa munkolereyo ekiraga nti.
Mukyaali nange.

10

Nanziri n'awulira eddoboozi lya nnyina nga ligamba nti, "Mwana waffe, londa obupapajjo obusigaddewo. Obwo bw'oba oseneramu amazzi era onaabe n'ebigere. Bw'omala okunaaba, ozibirize."

Nanziri yakolanga bwe baamugamba era amangu ago obupapajjo bw'endeku ne buddamu ne bufuuka endeku ennamba.

11

Nanziri yeeyongera okutambulanga n'endeku ye wonna we yalaganga. Buli we yayitanga abantu nga boogera mu bwama nti, "Endeku eyo ya ngeri ki?"

Buli kintu Nanziri kye yayagalanga yakifunanga olw'okubeera n'endeku ye eyo.

12

Olw'okubanga Nanziri yalina endeku ye eyo ey'enjawulo, yawuliranga muli nti bazadde be bamukuuma.

13
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Nanziri n'Endeku
Author - Ursula Nafula
Translation - Rebecca Kuteesa
Illustration - Catherine Groenewald
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs