Obulabe bw'okusuulirira maama
John Nga'sike

Waliwo omwami gwebaayitanga Lodipo.

Yabeelanga ne bakyala be ababiri, Akai ne Akitela.

1

Mukyala wa Lodipo asooka, Akai, ye yeka eyali ayambako nyazaala we eyali omuzibe.

2

Olunaku lumu, mukyala wa Lodipo omuto, Akitela, yagamba, "Tuve wano tugende mu kitundu
eky'eddembe."

Ekyalo kyebaabelangako kyalumbibwanga abanyazi b'ente. Akitela yawuliranga atalina bukuumi.

3

Lodipo yagamba Akitela nti maama we yali tayagala kusenguka. Akitela yalemelako nti basenguke, baleke ne maama wa Lodipo emabega.

"Bwetutava wano nja kudila abazadde bange," Akitela yakaabira Lodipo.

4

Lodipo yayagalanga nyo Akitela namwemaliza. Betegekera okusenguka.

Omukyala asooka, Akai, yatunulira ebyali bigenda mu maaso n'okubuzabuzibwa.

5

Maama wa Lodipo omuzibe yatuula ku ddiba ly'embuzi wansi w'omutti. Yali tamanyi ku kigenda mu maaso.

"Tumuleka tutya kululwe?" Akai yeewuunya.

6

Lodipo ne bakyala be, baatikka ebintu byabwe ku ŋŋamiya bbiri. Baagenda mu kasirise nga tebasiibude namukadde.

Akai yali akaaba kubanga yali mu nnaku ey'okulekawo nazaala we ku lulwe.

7

Omukyala omukadde yakaaba nayimba luno oluyimba lw'ennaku nga ayita mutabani we.

Yeewuunya eyandi mulabilide. Yeewuunya eyandi mugye mu kasana akookya.

8

Nga Lodipo ne bakyala be ababiri baakavaawo, abanyazi baalumba ekitundu.

9

Abanyazi baabuuza omukyala omukadde okubabuulira mutabani we gye yali alaze. Baamugamba, "Tugenda mugoberera tumutte."

Yeegayirira, "Temutta mukyaala mukulu n'abaana be." Yabasaba bakomyewo endiga ye, Lodipo gyeyali atute naye.

10

Abanyazi baagoberera Lodipo. Nga akyetereeza mu kitundu ekipya, baamugwako ne bamutta ne mukyala we omuto.

11

Mukyala mukulu, Akai, yadayo ewa nazaala n'endiga ne babeera bombi mu ssanyu.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Obulabe bw'okusuulirira maama
Author - John Nga'sike
Translation - Jonathan Ddamulira
Illustration -
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs