Nayiga essomo
Ursula Nafula
Catherine Groenewald

JjaJja wange yanjagala nnyo.

Yambuliranga ebyama bingi naye yalekayo kimu.

1

"Ekisero n'ebikoola byaki?"

JjaJja yanziramu nti, "Byabufuusa."

2

Nali njagala kulaba.

Naye JjaJja yantuma ngende nkole ekintu ekirala.

3

"Biri wa?" JjaJja bweyaŋŋamba, "Biri gyenfuusiza."

4

JjaJja yantuma mu kisenge kye.

Nawunyiriza amenvu agengedde.

5

Nali nzudde ekifo JjaJja gyafuisiza.

Nali ndabye amenvu agengedde.

6

Nalyako limu.

Lyelyenvu eriwoomu lyenali ndozezaako bukyangambawo.

7

Natwala amenvu amalala aana.

Nengakweka munda mu kiteteeyi kyange.

8

Ku lunaku lw'akatale, JjaJja yatwala ebirime mu katale okubitunda. Naswala.

9

Bweyampita eddako, namanya lwaki ampise.

Siddangamu kubba mulundi mulala.

10
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Nayiga essomo
Author - Ursula Nafula
Translation - Nalukwago Joviah, Uganda Christian University
Illustration - Catherine Groenewald
Language - Luganda
Level - First words