Wakkapa omugezi ne Wambwa omusiru
Solomon Abreha
Salim Kasamba

Edda enyo, waaliwo Wakkapa omugezi ne Wambwa omusiru.

Wakkapa omugezi yali assula bulungi mu maka amagagga. Wambwa omusiru enjala yali emulumira ku nguudo.

1

"Kijja kitya nti amaka amagagga gakukirizza okusula munju yabwe?" Wambwa omusiru yabuuza Wakkappa omugezi na busungu.

2

Wakkapa omugezi yaddamu nga agamba, "Mbeera na abantu kubanga ndi muyonjo era obubi bwange mbuziika. Nsaba emmere nga ngamba, myawu."

3

"Bwenkola kyekimu banaanzikiriza okusula mu nyumba?" Wambwa abuuza.

Wakkapa yaddamu, nti, "Iiye, kola ky'enkugambye leero bajja kukiriza bakuwe ne emmere."

4

Wambwa omusiru yagamba, "Leero sijja kukulumya."

"Katte anfune omulundi guno. Saagala kumusaanga neela," Wakkapa yagamba, ngeebuka egeenda.

5

Nga asinzidde ku magezi ga Wakkappa, Wambwa omusiru yaboggolera nnyo ku luggi lwe enyumba.

6

Bananyini nju baamukuba omuggo.

"Wakkapa yansiriwaza. Nja kumulya bwemmufuna," Wambwa omusiru naawogana.

7

Wakkapa bwe yali ezanyira wabweru we nyumba ye, Wambwa yamusikambula.

Yamugamba, "Omulundi ogwasembayo wansiriwaza. Wangamba okuboggolera ku geeti ye nyumba. Bananyini yo bankuba kati ngenda kukulya."

8

"Wuliriza Wambwa, osobola okundya naye sooka oleke mmale okuzanyamu katono. Nange bwe njigiriza emmese okuzanya nga sinajirya," Wakkapa omugezi naaddamu.

9

Wambwa yabuuza, "Emmesse ezanya etya?"

Wakkapa yaddamu, "Njireka neegenda nenjigamba okubala pakka ku ssatu. Emesse bweba ebala, njikwata."

10

Wambwa omusiru yaleka Wakkapa naagenda naajigamba ebale paka ku ssatu.

Wakkapa omugezi naatoloka naalinya omuti.

11

Wakkapa omugezi naaddamu, "Wulira Wambwa, tolidamu kunfuuna neera. Siri musiru.

Osobola okubala ku kikumi, lukumi, oba akakadde naye tolinfuna neela!"

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wakkapa omugezi ne Wambwa omusiru
Author - Solomon Abreha, Teki'a Gebrehiwot
Translation - Timothy Kalemba
Illustration - Salim Kasamba
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs