Wankima ne Ggonya
Mozambican folktale
Amir Bachir António Necas

Wankima yaberanga mumuti omunene kumabali go mugga. Mumassekati go' mugga waliwo olwazi olutono. Emiti gye' bibala mingi gamera okumpi no' mugga

1

Wankima yayagalanga okugenda alye kubibala. Yalaba olwazi olunene olyali lusala mu makatti go' mugga era yalowoza nga asobola okubuuka kulwazi olwo agende kukazinga.

2

Yabuuka mubanga nagwa ku lwazi. Yabuka nate na' gwa ku kazinga. Yeemisa ebibala era olwamala naddayo ekka. Era bwegutyo bwegwali emirundi ejiwerako.

3

Naye Ggonya yabeeranga mumazzi nemukaziwe! Omukyala yagamba "omwagalwa gira ogende ogalamire ku lwazi. langi yo' lwazi yeemu neyeddiba lyo."

4

Enaku ntono nyo oluvanyuma, Ggonya yalaba Wankima nga agya. Mukasirikiriro yawalampa olwazi era nagalamila owo ngo' mutwe guli mumazzi.

5

Wankima yamaliriza okulya ebibala era ngayetegese okuddayo ewaka. Naye olwazi lwalabika ngalugulumivu okusinga kulwabulijjo, Wakima yayogera eri olwazi nti "Owomukwano lwazi, olabika ngo' kuzze. Mutawaana ki?

6

Ggonya yali musiru ekimala era na' lowoza nti olwazi lwogera. era yadamu nagamba Wankima nti, "ngezze kubanga Ggonya enene engalamiddeko."

7

Wankima yagamba, "mukwana Ggonya, nkimanyi nti oyagala kundya. ndimukaddenyo era osobala okutwala omubiri gwange. Naye nzikiriza nsoke nsibule abaana bange abali mumuti ogwo." Ggonya yaweeka Wankima kumugongo na' mutwalako!

8

Amanguddala ngabatuse, Wankima yabuuka na' gwa kumuti era nagamba Ggonya nti, "mukwano Ggonya webale kundetako, welaba." naye Ggonya nanyikaala, "Naye wansubiza nti ozze kusibula baana bo."

9

Wankima yabwatuka na' seka era nagamba, "Oli mugwagwa nabaki okukiriza ebigambo byange!" Era nabulira mu mitti. Ggonya luberera yalemwa okukwata Wankima omugezi.

10
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wankima ne Ggonya
Author - Mozambican folktale
Translation - Antony Nsubuga, Uganda Christian University
Illustration - Amir Bachir António Necas
Language - Luganda
Level - First paragraphs