Fana n'abantu be babeela mu Debre e Birhan, ekibuga ekyamaanyi mu Ethiopia. Fana muyizi we'kibiina ekyokusatu. Alina omutima omulungi era mugezi.
Fana ayagala ebisolo. Alina kkapa, enkoko bbili, embuzi n'enjiibwa. Amala ebiseela nebbino ebisolo, nga abiliisa, nokuzzanya nabyo.
Olunaku lumu, Fana yali azanya mu lujja ku ssomero ne mikwano gye bwe yalaba abaana nga bakasukila enjiibwa amayinja.
"Lwaki balumya enjiibwa?" Nne yebuuza.
"
Yalekelaawo okuzanya na dduka eli abaana abaali bakasuka amayinja.
Mukusooka mikwano gye tegyategeela kyaali kigenda mumaaso, nebalyooka bamugobelela. "Mulekelaawo okukasuka amayinja," Fana bweyaleekana.
Abaana abalala bbo badduka wo.
Fana yakwata enjiibwa ebbili ezaali zilumiziddwa. Yalaba amabwa ku biwaawaatilo zaabwo. Yasalawo okutwaala enjiibwa ebbili ewaka okuzilabilila.
Yaliisa enjiibwa. Olweggulo yagaamba abeewaka we kyeyalaba ne kyeyakola emisana, ne bwe yataasa enjiibwa.
Kumakya Fana ne bazadde be bageenda mu kalwaliro ne bafunila enjiibwa eddagala.
Oluvanyuma lwenakku entone, amabwa g'enjiibwa gawoona. Fana yawulila essanyu liinji.
Fana akutiila mikwano ggye, "Njagala ebisolo. Ebisolo byamugaso gyetuli era mikwano gyaffe. Tutekeddwa okubikuuma n'okubiwangaaza."