Olunako olwokya
Tessa Welch
Wiehan de Jager

Eddedda abawala basatu bagenda okutyaba enku.

1

Olunaku lwali lwokya nnyo ela nebagenda wansi okuwuga.Nebazannya,nebeyila ela nebawugila mu mazzi.

2

Mubwangu ddala nebakizuula nti obudde bwali buyise. Nebanguwa okudda ku kyalo.

3

Webali basembeledde okumpi newaka,Nobizele nassa omukono gwe mubulago.Yali yelabidde ekikomo kye ekyomubulago."Bambi mumpelekeleko."bweyasaba banne.Naye banne bamugamba nti kyali kikelezi nnyo.

4

Ela Anna yaddayo yeka ku mugga yeka.Ekikomo kyomubulago yakisanga ela nayanguwa okudda eka.Naye yabulila munzikiza.

5

Yalengela ettala eyali eva mu kasisila ewala.Nayanguwa ogenda ku kasisila ela nakonkona ku lujji.

6

Ekyamwewunnyisa,embwa yagulawo nemugamba nti,"Oyagala ki?""Mbuze ela netaaga ekifo ewokwebaka,"bwatyo bweyagamba Anna."Yingila,oba nja kuluma."wambwa bweyagamba.Ela Anna yayingila.

7

Awo embwa nebugamba,"nfumbila"Naye sifumbila ngako kumbwa,"bweyaddamu."fumba,oba njakuluma."embwa bweyagamba.Ela Anna nafumbila embwa emmele.

8

Kati embwa negamba,"Njalila obulili"Anna naddamu,"siyalila ngako mbwa bulili.""Njalila obulili,oba nja kuluma."embwa bweyagamba.Ela Anna nayala obulili.

9

Buli lunaku yayina okufumba,okwela nokufumbila embwa.Awo olunaku lumu embwa negamba,"Anna,leero nina okyalila mikwano jange.Yela ennyumba,fumba emmere ela oyoze nebintu byange nga sinadda."

10

Embwa nga yakagenda,Anna yajja obuviiri bubiri kumutwe gwe.Yassa akaviiri kamu wansi wobuliri,akalala emabega wolujji,akalala mu kiffo ekisibeko ekikomela mu kyalo.Awo nadduka nga adda waka.

11

Embwa bweyakomawo,yanonnya Anna."Anna,oliwa?"bweyalekaana."Ndi eno wansi wekitanda,"akaviiri akasoka bwe kagamba."ndi eno emabega wolujji,"akikubili bwe kagamba."Ndi eno ewali olikomela,"akokusatu bwekagamba.

12

Awo embwa nemannya nti Anna yali ajizannyidde ku bwongo.Awo nedduka mpaka ku kyalo.Naye bannyina ba Anna bali balinze nemigo eminenne.Embwa yakyuka nedduka ela tebadda ngamu kujilaba okuva olwo.

13
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Olunako olwokya
Author - Tessa Welch
Translation - Mukalazi Peter
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs