Wakkapa ne Wambwa n'omupiira
Elke and René Leisink
Elke and René Leisink

Ono Wakkapa.

Ono Wambwa.

1

Wakkapa ne Wambwa babeera mu nju.

Enju eriko oluggi n'akasolya.

2

Wakkapa ne Wambwa balina omupiira.

Omupiira gulina langi ezenjawulo emyufu, eyabbululu, n'eya kiragala.

3

Wakkapa ne Wambwa bazanyisa omupiira.

Wakkapa akasukira Wambwa omupiira. Wambwa akwata omupiira.

Wambwa akasukira Wakkapa omupiira. Wakkapa akwata omupiira.

4

Oluvanyuma Wakkapa akasuka omupiira mubbanga.

"Oo! Oo!"

5

Omupiira guli waggulu ku kasolya.

Omupiira guli ku kasolya k'enyumba.

6

Wakkapa ne Wambwa basobola okulaba omupiira.

Wakkapa ne Wambwa tebasobola kutuuka mupiira.

7

Wakkapa ne Wambwa bakaaba.

Awo Wanjovu najja.

8

Wanjovu munene.

Wanjovu asobola okulaba omupiira.

Wanjovu afuna omupiira okuva kukasolya.

Wanjovu afuna omupiira okuva kukasolya k'enju.

9

Wanjovu awa Wakkapa ne Wambwa omupiira.

Wakkapa ne Wambwa bamwenya.

Wakkapa na Wambwa ne Wanjovu basanyuka.

10

Wakkapa ne Wambwa ne Wanjovu bazanyisa omupiira. Wakkapa akasukira Wambwa omupiira.

Wambwa akasukira Wanjovu omupiira. Wanjovu akwata omupiira.

Wanjovu akasukira Wakkapa omupiira. Wakkapa akwata omupiira.

11

Welaba Wakkapa.

Welaba Wambwa.

Welaba Wanjovu.

12

Welaba omupiira.

13
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wakkapa ne Wambwa n'omupiira
Author - Elke and René Leisink
Translation - Nambakire Rosemary
Illustration - Elke and René Leisink
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs