Wuliliza omubiri gwange
Noni
Angie and Upesh

Leero sigenda kusomero. Tulimukiwumulo.

1

Leero sigenda kulaba terefayina. Tewali masanyalaze kale.

2

Kiki kyengenda okukola?

Leero ngenda kuwuliliza mubiiri gwange!

3

Ekisoka, nina kusirika nyo nyo. Nsobole okuwuliliza omubiiri gwange.

4

Kati nsobola okuwulira mbwenzisa.
Nzisa munda ne wabweru, munda newabweru.

5

Nenyongeza mukuusa gwange. Ssssssssssssss!
Nenzikakana. Mmmmmmm.

6

Kati nsobola okuwuliliza omutima gwange nga wegukuba!
Doodom, doodoom, dooom.

7

Nsobola okukiliza omutima gwange negukuba mubwagu? Iye, nga mbuse wagulu ne wansi emirundi abiiri.

8

Kati laba, omutima gwange gukuba mubwangu obwekitalo.

9

Wentekka obugalo bwange kumukono, nsobola okuwuliliza entununsi zange.

10

Nsobola okwewuliliza nga nseeka.

Haha, haha, haah, haaaa!

11

Nsobola okwewulila nga nkaaba.

Boohoooo hooo!

12

Nsobola okwewuliliza nga nkuuba engalo.

Engalo, engalo, engalo.

13

Nsobola okuwulira olubuuto lwange nga lwenyoola.

Guddu, guddu, guddu.

14

Olubuuto lwange lugambanti, ndiisa.

15

Enyindo yange ewunyiliiza kekyi ezifumbidwa mu kiyungu kya mama wange.

Kati njagala amanyo gange galye kekyi ezo.

16
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wuliliza omubiri gwange
Author - Noni
Translation - Auma Rhona
Illustration - Angie and Upesh
Language - Luganda
Level - First sentences