Awo olwatuka, waliwo amaka amasanyufu.
Abaana tebalwanagananga. Bayambanga bazadde babwe ekka nne mu nimiro.
Naye, tebakirizibwanga kuseeberera muliro.
Emirimu gyabwe gyonna bagikola nga kiro.
Kubanga batondebwa mu bisasalala!
Naye omu kubalenzi bayayanira nga nyo okugenda ebweru mumusana.
Olwali olwo, okuyayanakwe n'ekweyongera nyo. Baganda be nebamuwabula obutafuluma bweru.
Naye kyali kyikelezi! Yasaanukira mumusana.
Baganda be nebakaaba nga balaba muganda wabwe asanuuka.
Naye balina entekateka eddala. Ebisasalala ebyasanuuka nebabikolamu ekinyonyi.
Nne batwala muganda wabwe ekinyonyi ku lusozi oluwaanvu.
Omusana bwegwavayo ku makya, yabuuka n'agedda ng'ayimba.