wambuzi, wambwa ne wante
Fabian Wakholi
Marleen Visser

Wambuzi, Wambwa ne Wante bali bamikwano balungi.olunaku lumu bagenda ku lugendo mu tekisi.

1

Batuuka ku nkomerero y'olugendo lwabwe. omugoba n'abasaba okusasula ebisale byabwe. Wante ye nasasula ebibye.

2

Wambwa n'asasula omusobyo, kubanga teyalina nsimbi ntufu

3

Omugoba yali anateera okuwa Wambwa ezisigadde, ekyembi Wambuzi nadduka nga tasasudde.

4

Omugoba yanyiga nnyo, n'avuga okuvawo ngatadiza Wambwa na nsimbi ze.

5

Y'ensonga lwaki nolwaleero Wambwa adduka ku mmotooka okulingiza munda. anoonya omugoba gwabanja ensimbi ze.

6

Wambuzi addukka okuvira eddoboozi ly'e mmotooka ng'atya okumusiba olwobutasasula bisale.

7

Wante ye tafayo ku mmotooka. Wante atwala obudde bwe ng'asala ekubo,amanyi nti yasasula ebisale bye mubujuvu.

8
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
wambuzi, wambwa ne wante
Author - Fabian Wakholi
Translation - Nakyobe Roy
Illustration - Marleen Visser
Language - Luganda
Level - First sentences