Nakkungu Nakintu N'Ekikule Kule
Alan Kenyon
Wiehan de Jager

Awo olwatuuka, newabawo omwami ne mukyala we nga baavu era nga balina omwana omu yekka omuwala elinya lye nga ye Nakintu.

Nakintu yali mulungi ate nga wakisa nnyo ne bazadde be nga bamwagala nnyo.

1

Lwali lumu bazadde be ne basalawo agende abeere ne kojja we Kiwanuka eyali omugagga.

Maama wa Nakintu yamutungira sikaati enungi eriko amapeesa n'embira.

Era namukolera eky'omubulago ekyembira awo namusindinka agende kukyalo kojja we gyeyabeeranga.

2

Mulugendo Nakintu yasanga omwala. Yasala omwala ngakozesa amayinja agalinyibwako.

Kuluda luli nga amaze okusomoka omugga yasisinkana omuwala omuto nga yambadde ebiwero.

3

Omuwala omuto nambuza nti ogenda wa? Nakintu namugamba nti ngenda kukyalira kojja wange Kiwanuka. Eh. Nange Kiwanuka ye Kojja wange, era gyendaga Awo nebasalawo bagende bona.

4

Nga tebanatuuka wala nnnyo omuwala omuto yamugamba nti sikati yo nungi n'embirazo mpitirivu; nsaba nange negezemu. Kati Nakintu najjamu sikati n'embira ze n'abiwa omuwala omuto.

5

Omuwala omuto bweyeyambula ebiwero bye nayambala engoye za Nakintu, Nakintu nakiraba nti omuwala omuto yalina omukira! Nakintu natya nnyo namanya nti ddala kituufu omuwala ono omuto yali kikulekule.

6

Baatambula bombi Nakintu namugamba nti nkusaba ompe sikati ne mbira zange. Naye ekikule kule ne kimugamba nti ngenda kuzikuwa nga tutuuse ku muti guli ku kasozi.

7

Bwebaatuka kumuti, Nakintu nagamba omuwala nti nkusaba onzirize sikati nembira zange. Omuwala namugamba nti kanziberemu paka ku mwala oguddako. Nakintu n'atya nnyo, naye yakiriza.

8

Oluvanyuma batuuka ku mwala. Era Nakintu nasaba ekikilekule okumuwa sikati n'embiraze. Ekikule kule ne kimugamba nti kale kanyambale mu pakka ku kasisira kali awatudde abakazi.

9

Bwe batuuka kukasisira ekikulekule ne kisalawo okusindika Nakintu emabega nekigamba abakazi abatudde okumpi nakasisira nti "mulabe omuwala ono ayambadde obuwero abadde angoberera olunaku lwonna. Singa agenda eri nandeka nzeka! Nakintu natya era naswala nnnyo nadduka neyekweka mu kiraalo."

10

Nze Nakintu muwala wa mugandawo. Bazadde bange bansindise okubera nawe. Kiwanuka nayaniriza omuwala omuto ye namakage gonna ne baba bakisa eri omuwala. Kawala katu ka Nakintu kali kalina kwebaka mukiraalo era n'okulya kalya kumere ya mbwa.

11

Emisana Nakintu yagenda mu nimiro yakasoli ne yekweka nga bwayimba nti eeh nga ndabye nga ndabye. Nasindikibwa bazadde bange okubeera nekojja wange Kiwanuka. Mulugendo nasanga ekikule kule ne kitwala sikati yange n'embira zange eeh ngandabye. Ngandabye.

12

One day, one of Mtonyama's brothers was walking in the fields when he heard the strange and beautiful song. He didn't know where the song was coming from, but when he got home, he told Mtonyama the words. Right away, Mtonyama went into the fields. He heard the song, and looked until he found Nonkungu.

13

Lwali lumu omu kubaganda ba Kiwanuka yali atambula munimiro eya kasooli nawulira oluyimba olulungi Teyamanya wa oluyimba gyelwali luva, nange bweyadda yo ewaka nabulira Kiwanuka ebigambo ebyo. Amangu ago Kiwanuka nagenda mu kisawe. Yawulira oluyimba nanonya paka bweyalaba Nakintu.

14

Kiwanuka yali ategeddeko nti omukira gwe ekikule kule gwagala nnyo amatta era nti tegusobola kugayitako nga tegunywedde ko. Kati nagamba absajja be okusima ekinya ekiwanvu bakijjuze mu amatta. Awo nayita abawala bonna ku kyalo okwetaba mu mpaka z'okubuuka.

15

Omuwala eyali ayambade sikati n'embira za Nakintu kya mwelalikiriza nnnyo. Teyayagala kubuuka kinya. Kubanga yamanya nti omukira gwe gujja kulumwa ennyota nga gulabye ku matta. Kati omuwala omuto yagenda mu kasisira nagunyweza nga bwasobola era nagenda neyegatta ku bawala abalala.

16

Oluvanyuma lwa abawala bona okubuuka ekinya, Ekikulekule ne kijja nakyo okubuka. Ky'abukira wagulu ennyo aw'ekinya naye omukira gwakyo ne gusumulukuka. Era negumusika wansi pakka mu matta.

17

Ekikule kule ne kifuba okuva wansi mu matta, naye abasajja nebajja mangu nebabikka ekinya n'omusenyu nebakiziikira mu. Era eyo yeyali enkomerero ye ekikule kule oluvanyuma Nakintu nabeera musanyufu ne kojja we okumala ekiseera kinene. Nange awo, wenalabira!

18
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Nakkungu Nakintu N'Ekikule Kule
Author - Alan Kenyon, Viv Kenyon
Translation - Rebecca Kuteesa
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs