Baasi ennene eya bululu
Mecelin Kakoro
Mango Tree

Ku kyaalo ky'Ebei kwaliko baasi emu yokka.

Baasi eyo yali nnene nga ate ya bululu. Era yali ereekaana nyo!

1

Lumu maama w'Ebei yagamba, "Enkya tujja kugenda mu kibuga nkugulire olugoye lw'essomero."

2

Ebei yasanyuka nnyo bweyalowooza ku kutambulirako mu gu baasi ogunene ogwa bululu.

Era ekiro ekyo teyakomba ku mpeke ya tulo.

3

Maama w'Ebei yagenda okujja okumuzuukusa, yamusanga yazuukuse dda nga n'okwambala yamaze dda!

4

Ebei ne maama we baatambula nebagenda mu kifo we balinyira baasi nebagirinda.

Naye ekyakabi baasi teyalabikako.

5

Abantu abalala nabo baatuuka awalinyirwa baasi nebatandika okwemulugunya nti, "Iii, baasi nga eruddeyo? Oba yatulese dda?"

6

Ebei yerarikirira era wakati mu birowoozo nagamba nti, "Kirabika tetukyagenze mu kibuga era n'olugoye lwange olw'essomero sikyalufunye."

7

Abantu abamu baakoowa nebeddirayo eka.

Naye Ebei ye nakaaba nga tayagala kuddayo waka. Maamawe namugumya.

8

Amangu ago baawulira okuvuuma, nebalaba n'enfuufu mu bbanga.

9

Baasi eyajja yali myufu ate nga ntono.

Abaali bagirinze baagitunuulira era tebaagirinya.

10

"Muyingire! Muyingire!" omugoba wa baasi nabakowoola.

"Leero tuli kikeerezi nnyo!"

11

Ebei ne maama we bebaasookera ddala okuyingira.

Olwo buli muntu nayingira.

12

Ebei yatunula mu ddirisa naalaba abantu nga beyongedde obungi.

13

Nabalala nga baja badduka nabo bajirinye naye baatuuka kikeerezi nga baasi ejjudde.

Baasi emyufu neyolekera ekibuga.

14

Maama wa Ebei yabuuza nti, "Baasi eyabulu ennene eri wa?"

Omugoba wa baasi yaddamu nti, "Yafunye obuzibu. Tukyagidabiiriza naye ejja kujja enkya."

15

Ebei teyafaayo ku langi oba obunene bwa baasi.

Ekyamusanyusa kyali nti baasi egenda mu kibuga.

16
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Baasi ennene eya bululu
Author - Mecelin Kakoro
Translation - Fatma Baraka, John Emongot
Illustration - Mango Tree
Language - Luganda
Level - First paragraphs