Lwaki envubu tezirina bwoya
Basilio Gimo
Carol Liddiment

Lwali lumu, nga Wakayima atambula kulubalama lw'omugga.

1

Envubu nayo yaliwo ng'eyimiride era nga bw'erya kumuddo ogwakiragala ogwali gulabika obulungi.

2

Envubu teyalaba Wakayima, era mubutanwa Envubu n'erinnya kukigere kya Wakayima.

Wakayima n'akaaba nga bw'alekaanira Envubu nti, "Nvubu gwe, tolaba nti onninye kukigere?"

3

Envubu ne yetondera Wakayima nti, "Ow'omukwano bambi nsonyiwa, mbade sikulabye."

Wakayima teyawuliriza Nvubu, era mu ddoboozi eryawaggulu nagidamu nti, "Okigenderedde! Era olunaku lumu ojja kukisasulira."

4

Awo Wakayima n'agenda ew' Omuliro nagugamba nti, "Genda oyokye Envubu bwe banga evude ku mugga okulya omuddo. Kubanga eninye kukigere kyange!"

K'Omuliro nti, "Tewali buzibu, Wakayima, mukwano gwange njja kukola nga bw'osabye."

5

Oluvanyuma, Envubu yali erya omuddo nga y'esuddeko akabanga okuva awali omuga. Enimi z'Omuliro ne zigwa ku Nvubu ne zitandika okwokya obwoya bw'Envubu bwona.

6

Envubu netandika okukaaba nga bw'edduka okuyingira mu mazzi g'omugga. Obwoya bw'Envubu bwona nga busiriride mu muliro.

Envubu nekaaba nnyo. "Obwoya bwange bwona bujjiride mu muliro. Obw'okyeza. Obwoya bwange bwona obulungi ennyo!"

7

Era Wakayima yasanyuka nnyo ngabweyewana. "Nange mwesasuza."

Y'ensonga lwaki Envubu tegenda wala okuva okumpi n'amazzi olwokutya okwokebwa omuliro.

8
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Lwaki envubu tezirina bwoya
Author - Basilio Gimo, David Ker
Translation - Joshua Waswa Mwesigwa
Illustration - Carol Liddiment, Little Zebra Books
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs