Wambuzi, Wambwa ne Wante baali ba mukwano nnyo. Olumu baagenda ku lugendo mu takisi.
Bwe baatuuka gye balaga, omugoba w'emmotoka naabasaba basasule ssente. Wante yasasula ezize.
Wambwa yasasula ezisinga ku ze yali alina okusasula, kubanga teyalina muwendo gwa ssente gwennyini.
Omugoba w'emmotoka yali anaatera okuddiza Wambwa ssente ze. Naye Wambuzi n'atandika okudduka ate nga tasasudde.
Omugoba yanyiiga nnyo. Era n'agenda nga taddizza Wambwa ssente ze.
Ky'ova olaba n'okutuusa leero, Wambwa adduka okulingiza mu mmotoka. Alabe omugoba omuvuzi w'emmotoka alina ssente ze.
Ate ye Wambuzi bw'awulira emmotoka ejja. Adduka kubanga atya nti bayinza okumukwata olw'obutasasula.
Wante ye tafaayo oba emmotoka ne bw'eba ejja. Asala ekkubo nga yeetwala anti akimanyi nti yasasula n'amalayo.