Wankoko ne Wakamunye
Ann Nduku
Wiehan de Jager

Edda ennyo, Wankoko ne Wakamunye baabeeranga wamu mirembe n'ebinyonyi ebirala byonna.

Buli kimu baakikoleranga wamu.

1

Olwali olwo enjala n'egwa. Wakamunye yalina okutambula olugendo luwanvuko okufuna eky'okulya. Yakomawo ng'akooye nnyo.

Wakamunye kye yava agamba nti, "Wateekwa okubeerawo engeri ennyangu ey'okutambula."

2

Bwe bwakya ku makya Wankoko yali afunye ekirowoozo ekirungi. Yatandika okukuηηaanya ebyoya by'ebinyonyi ebyali byafa edda.

Wankoko n'agamba nti, "Tutunge ebyoya bino tubigatte ku byaffe. Oba oli awo kiyinza okutwanguyiza nga tutambula."

3

Ku kyalo ekyo kyonna, Wakamunye ye yekka eyalina empiso era ye yasooka okutunga. Teyalwa n'abuuka ng'alina ebiwaawaatiro ebirungi ddala era n'alaba nga Wankoko amulese wansi ddala.

Wankoko yatuuka n'akoowa okutunga. Yateeka empiso ku kabada n'agenda mu ffumbiro okufumbira abaana be emmere.

4

Wabula ebinyonyi ebirala byali birabye Wakamunye n'abuuka. Ebinyonyi byasaba Wankoko empiso nabyo bitunge ebiwawaatiro byabyo.

Ebbanga teryalwa ne wabaawo ebinyonyi ebyali bibuukira mu bbanga.

5

Ekinnyonyi ekyasembayo okutuunga bwe kyakomyawo empiso, Wankoko teyaliiwo.

Abaana ba Wankoko ne batwala empiso ne batandika okugizannyisa. Bwe baakoowa okugizannyisa ne bagireka mu musenyu.

6

Ku olwo emisana Wakamunye yakomawo ewaka. Yabuuza empiso ye gy'eri asobole okutunga ebyoya ebyali bitadde ng'ali ku lugendo lwe.

Wankoko yanoonya ku kabada, mu ffumbiro, mu luggya naye nga empiso terabikako.

7

Wankoko ne yeegayirira Wakamunye nti, "Mpaayo olunaku lumu bwe luti nginoonye awo olyoke ate oddemu obuuke onone emmere."

Wakamunye n'amugamba nti, "Nkuwadde olunaku lumu lwokka. Empiso bwotogirabe nga onsasulamu omu ku baana bo."

8

Wakamunye bwe yakomawo enkeera, n'asanga Wankoko ng'atakula mu musenyu okunoonya empiso naye nga tagiraba.

Wakamunye kye yava akka wansi n'ayoolawo akaaana ka Wankoko kamu n'akatwala. N'okuva olwo Wakamunye buli lw'ajja, asanga Wankoko atakula okunoonya empiso.

9

Wankoko buli lw'alaba ku kisiikirize ky'ekiwaawaatiro kya Wakamunye ng'alabula abaana be ng'abugamba nti, "Muve mangu mu kyangaala mugende mwekweke."

Nabwo nga buddamu nti, "Naffe tetuli basiru, ka tudduke."

10
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wankoko ne Wakamunye
Author - Ann Nduku
Translation - Robert Ssebukyu
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs