Tomu omutunzi w'amenvu
Humphreys Odunga
Atilabachew Reda

Tomu yetika olusaniya lw'amenvu.

1

Tomu agenda mu katale natunda amenvu.

2

Abantu mu katale bali mukugula bibala.

3

Naye tewali muntu nomu agula menvu ga Tomu. Abantu basinga kwagala kugula bibala kuva ku bakazi.

4

"Mukitundu kyaffe, abakazi bebatunda ebibala boka," abantu bwe'bagamba. "Ono omusajja wakika ki?"

5

Naye Tomu teyagwaamu maanyi. Yayitanga bantu, "Mugule amenvu! Mugule amenvu gange agawooma ate agengedde."

6

Omukazi omu kyeyava atoola ekiwagu kya'menvu okuva ku lusaniya. Neyekebejja amenvu gano nobwegendereza.

7

Omukazi awo nasalawo okugula amenvu.

8

Abantu nebeyongera okugenda kumudaala. Nebatandika okugula amenvu ga Tomu nebalya.

9

Amangu olusaniya nelukalira. Awo Tomu yatandika okubala sente zeyali afunye.

10

Era Tomu yagulamu Sabuuni, Sukaali n'omugaati. Nateeka ebintu bye ku lusaniya.

11

Awo Tomu neyetika olusaniya lwe kumutwe nadayo ewaka.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Tomu omutunzi w'amenvu
Author - Humphreys Odunga
Translation - Samson Nabbimba
Illustration - Atilabachew Reda
Language - Luganda
Level - First sentences